news

Poliisi enonya abafeere abeyita abebyobulamu

poliisi

Uganda Police Force ekutte omuntu era enoonya abalala 3 nga bano kigambibwa babadde bafera abantu mu bitundu by’e Wakiso nga beyita abakozi ba Uganda National Drug Authority.

Bano babadde batambulira mu motoka nnamba UBG 334A nga bafera aba clinic ne pharmacy mu Disitulikiti y’e Wakiso. Poliisi yategeezebwa ku bikolwa bino ebimenya amateeka bwetyo abakola mu CCTV Command Center e Nateete balagirwa okutandika okunoonya emotoka eno okuva nga 27/07/2020.

Image may contain: 1 person, standing, text that says '8-24 14:52: D5SH AGRO U LTD. COLC Pouvoir FullDisplay 4 Days Standby'

Bano babadde balondoola emotoka eno okuuka nga 24-8-2020 nga beyambisa kkamera enkettabikolwa emotoka eno nebagikwatira e Kawempe.
Poliisi esaba abantu okugiyambako okukwata abalala abasatu abadduse okuli omusajja ono omunene asibye ettaayi, omukyala ayambadde mask wamu n’omukyala omweru abadduse.Ye eyakwatiddwa ye Orombo Dawson.

Also read: Ensonga 5 lwaki Bobi Wine tatidde musango gwa Mabirizi.

Poliisi erabula abantu bonna era nebasaba okwekubira enduulu ku Poliisi eri okumpi singa eraba abantu nga abo mu bitundu byabwe kuba abakozi b’ekitongole kya National Drug Authority bwebaba bakola ebikwekweto babeera ne Poliisi

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

5 × three =

Most Popular

Fremer Media is a modern Ugandan digital media and news platform, it bring you breaking news both local and international. Our categories of news are celebrity, entertainment, politics, sports etc.

Our mission is to enrich the lives of Ugandans in and outside Uganda.

Copyright © 2020 Fremer Media. Built by Newslex Point Ltd

To Top
error: Content is protected !!