Luganda news

Bobi Wine adidemu Big Eye wabula amuteredeko obukwakulizo

Okumala akabanga akanene nga omuyimbi Big Eye alajanira muyimbi mune ate nga era munabyabufuzi, Robert Kyagulanyi Sentamu amuyambe ayogere nabawagizi be balekere awo okumukuba obucuupa buli waba alinye ku stage kyadaki bobi Wine amudidemu .

Bweyabadde ayogerako ne bana Mawulire mumaaka ge agasangibwa e Magere, bobi Wine yategezeza nti Big Eye yomu kubaana beyakwatako okufuuka abayimbi abalunji mugwanga wabula agamba akukuluma olwokuba nga omwana gweyasitula mu byokuyimba yasalawo okudda ku ludda lwekibiina ekiri mubuyinza era nga awagira Pulezidenti Museven.

Bobi Wine yagambye nti Big Eye asalewo abere wamazima era nga ekyo agamba nti kyekijja okumutaasa okuba nga akubwa obucuupa, wabula era naye yamusomozeza bweyamugambye nti ‘Omuntu gwowagira yanemesa okukola omulimu gwange ogwokuyimba nga tewali teeka limugaana, nze nga tewavaayo kunwanirira’

Wabula Big Eye nga ayita kumukutu gwe ogwa Instagram, yategezeza nti ye simwetegefu kuva kuludda lwa Museven era bwatyo yebaziza Bobi Wine  naye namutegeza nti ekintu kyayogerako ye simwetegefu kukikola.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

4 × 1 =

Most Popular

Fremer Media is a modern Ugandan digital media and news platform, it bring you breaking news both local and international. Our categories of news are celebrity, entertainment, politics, sports etc.

Our mission is to enrich the lives of Ugandans in and outside Uganda.

Copyright © 2020 Fremer Media. Built by Newslex Point Ltd

To Top
error: Content is protected !!